DP etwala ba Police mu kkooti lwakutulugunya Dr. Lulume

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab'ekibiiba kya DP batisatiisizza okukuba kinnoomu abaserikale ba Police mu kkooti olw'ebikolwa eby'okutulugunya ebyakoleddwa ku Dr. Lulume Bayiga eyali omubaka mu Palamenti owa Buyikwe ey'amaserengeta .

Dr. Lulume  nga wetwogerera ali ku Alimanda mu kkomera  e Luzira nga yagombeddwamu obwala mu Wiikendi ya ssabbiiti ewedde bweyabadde akubye olukungaana olukwata ku by'obulamu ku kitebe ky'eggombolola y'e Ngogwe mu Disitulikiti y'e Buyikwe.

Police egamba nti Dr. Lulume Bayiga yabadde akubye olukungaana oluli ebweru w'amateeka ate mbu nebakuba n'abaserikale abaabadde ku mulimu gwabwe ogw'okukwasisa amateeka. 

Share.

Leave A Reply