Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 754 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

DP ekungubagidde muka Mandela –

April 3, 2018 · Mubiru Ali

Ab’ekibiina kya Democratic Party basindikidde Gavumenti ya South Africa wamu n’abooluganda lwa Winnie Madikizela abadde mukyala w’omugenzi Nelson Mandela obubaka obw’okusaasira olw’okuviibwako omuntu eyali ow’enkizo ennyo mu kuleeta enkyukakyuka mu biseera by’okulwanyisa obusosoze mu ggwanga lino.

Winfred  Madikizela yavudde mu bulamu bw’ensi eno olunaku lwa jjo mu Netcare Milpark Hospital mu Kibuga Johannesburg era yafiiridde mu gy’obukulu 81 olw’okutawanyizibwa akawago.

Bw’abadde ayogerako n’abamawulire mu lukungaana lwa DP olwa buli wiiki , omwogezi w’ekibiina kino Kenneth Paul Kakande agambye nti Winfred yali kyakulabirako kinene eri abakazi abaali balowooza nti tebasobola kuleetawo nkyukakyuka mu nsi eno.