Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 109 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

DP ekkirizza nti yawanguddwa mu kalulu k’ Omoro .

August 30, 2016 · Mubiru Ali

Ab’ekibiina kya Democratic Party bakkirizza nti baawanguddwa mu kalulu  akaakubiddwa okulonda omubaka omukyala anaakiikirira Disitulikiti y’e Omoro mu Lukiiko lukulu olw’eggwanga nga kaawanguddwa wa kibiina kya NRM .

Okulonda mu zi Disitulikiti empya ezaatondebwawo omuli; Kagadi, Kakumiro, Rubanda ne Omoro kwabaddewo eggulo nga balonda ababaka mu Palamenti , ba Ssentebe ne ba Kkansala.

Mu Disitulikiti y’e Omoro eyakwatira DP bendera Pamella Lanyero yawanguddwa owa owa NRM Catherine Lamwoka n’addirirwa owa FDC olwo n’abalala nebagoberera .

Ng’ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire enkya ya leero ku kitebe kya DP ekisangibwa ku City Gouse mu Kampala, Keneth Paul Kakande agamba nti baawanguddwa mu kalulu kano newankubadde nga  keetobeseemu okugulirira abalonzi , okubatiisatiisa n’ebirala .

Wabula Kakande anenya ab’oludda oluvuganya Gavumenti olw’enjawukana ezibalemesa okusimbawo omuntu omu mu mbeera ng’eno .