Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 282 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Douglas Kaaya aka Kasozi 40, nga mutuuze we Buziga Makindye yasimbiddwa mu maaso gomulamuzi weddaala erisooka Asuman Muhumuza owa Kkooti ya

May 7, 2026 · Radio Simba

🚨 Douglas Kaaya aka Kasozi 40, nga mutuuze w’e Buziga Makindye yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Asuman Muhumuza owa Kkooti ya Standards, Utilities and Wildlife e Makindye navunaanibwa omusango gwokugaba ebikwata ku Bannansi mu ngeri emenya amateeka ngabiwa abantu abagambibwa okukukusa abantu naddala abaana abawala nga babatwala e Dubai.
Kaaya nga Registration Assistant mu National Identification and Registration Authority (NIRA) yaguddwako emisango 2 egyokugaba ebikwata ku muntu nga tafunye lukusa ate nabiwa abantu abagambibwa okwenyigira mu kukukusa abantu.
Kaaya okukwatibwa kyaddirira emboozi eyakolebwa Omukutu gwa BBC ngeyogera kukukusa abaana abawala okuva e Uganda nebabatwala e Dubai nga babasuubiza emirimu, nebafundikira nga batwaliddwa mu bikolwa ebyokwetunda.
Kigambibwa nti Kaaya nabalala abatanakwatibwa beyambisa ofiisi za NIRA e Makindye nga 4-December-2024 bakozesa ebifo byabwe okufulumya ebikwata ku bantu abakukusibwa wamu n’okukakasa ebibakwatako okusobola okwanguyiriza omulimu

Radio Simba News