Doreen Nsimiire abadde agambibwa nti yawambibwa azuuliddwa

Poliisi ye Entebbe olunaku lw’okutaano yazudde omukyala ono yabula nga 17 – May – 2018. Doreen Nsimire 24 yali akola nga Waitress ku Sky Hotel Entebbe. Yava gyeyali abeera mu China Zzooni mu divisoni ya Nakiwogo mu disitulikiti ye Wakiso kussaawa bbiri ez’ekiro era nga yazuuliddwa mumaka gamuganzi we mu zzooni ye Katabi.

Kigambibwa nti Doreen weyabulira yabuulirako mukwano ggwe ku nteekanteeka z’okusenguka adde mu maka gamuganzi we nga bateekateeka okwanjula. Wabula mulamu we Geoffrey Atiku agamba nti yafuna essimu okuva eri omuntu omu nga amutegeeza nti yali awambiddwa era nawaaba omusango nga 18 – May – 2018 ku Hoima Police Station.

Oluvannyuma lwa Poliisi okutandika okukunya mikwano gye, wamu n’ebyo ebyawandiikibwa ku mikutu gya Internet Muganzi we namusaba aveeyo okwewala ebiyinza okuddirira.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
CEO wa UNOC alekulidde