Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 100 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Disitulikiti y’e Mubende yeetaaga obuwumbi 2 n’omusobyo okusasula abakozi

February 19, 2018 · Mubiru Ali

Ensimbi obuwumbi bubiri mu obukadde lunaana mu nkaaga mu buna mu emitwalo ataano mu esatu mu enkumi nnya mu kikumi mu kkumi na nnya (2,864,534,114) zezeetaagibwa Disitulikiti y'e Mubende okujjuza ebifo ebikumi bitaano mu ttaano (505) mu kiseera kino ebyereere ebitaliimu bakozi.

Akulira abakozi e Mubende (CAO) Nakamatte Lillian ategeezezza nti ekizibu ky'ebbula ly'abakozi abawerera ddala 505 kiviiriddeko emirimo okusannyala mu Disitulikiti  eno era nga kibeetagisa ensimbi 2,864,534,114 okubeera nga basasula emisaala gyabwe ezitaliiwo mu kiseera kino.

Nakamate annyonnyodde nti ebifo ebyereere kuliko abakulira amasomero 16, abamyuka abakulira amasomero 75, Senior Education Assistant 23 , abasomesa 134, abasawo 26, abemiruka 26 ne ba kkalani 28.

Nakamatte agasseeko nti bano nga ogasseeko n'abalala bakola omuwendo gwa bantu 505 bw'atyo kwe kuwanjagira Minisitule ya Gavumenti  ez'ebitundu okubadduukirira.