Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,467 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

DFCU Bank ekubiddwa mu kkooti lwa mabanja ga Crane Bank

August 8, 2017 · Mubiru Ali

Kkooti ekola ku misango gy’amabanja eragidde DFCU Bank okuteekayo kwewozaako kwaayo mu bbanga lya nnaku 15 zokka lwaki egaanyi okusasula amabanja ga Crane Bank eyaggalwawo gyebuvuddeko.

Kino kiddiridde Kkampuni ekola eby’okulanga eya Premier Advertising and Media Limited okukuba DFCU Bank mu mbuga z’amateeka nga egamba nti yali ebanja Crane Bank obukadde 112 obwa ssilingi za Yuganda mu kiseera Banka ya Yuganda enkulu weyasalirawo edde (Crane Bank) mu mikono gya DFCU .

Okusinziira ku Maneja wa Kkampuni eno, David Esiat agamba nti ssente zino zebabanja zaali zaakulanga mirimu gya Crane Bank era nga webutuukidde wano nga bazibanjizza n’obwoya nebubaggwa ku ntumbwe ekibaviiriddeko okufiirwa , awo nno kyebavudde beekubira enduulu mu kkoti ebayambeko ku nsonga eno.