Ddiifiri omuna Kenya akwatiddwa lwakulya nguzi

Aden Range Marwa Ddiifiri omuna Kenya afiiriddwa omukisa gw’okulamula empaka z’ekikopo ky’ensi yonna mu Russia oluvannyuma lw’okukwatibwa ku katambi nga alya enguzi. Ono yakwatibwa ku katambi ka vidiyo nga aweebwa enguzi ya ddoola za Amerika 600 bwebukadde bubiri mu emitwalo abiri.

Akatambi kano kazanyiddwa ku mukutu ggwa BBC bwatyo nagibwa mu kikopo ky’ensi yonna. Ono asubiddwa obukadde kyenda bweyandifunye olw’okulamula emipiira gy’ekikopo ky’ensi yonna. Marwa nga musomesa wa ‘Mathematics ne Chemistry’ ku Komotobo Secondary School e Kuria, Migori.

Ono alabwa mu katambi nga ayambadde yunifoomu ya Fifa era nga kino yakikolera Morocco mu January ne February 2018.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abavubi basattira lwa kubakolamu kikwekweto – Mityana