Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 223 listening Simba FM Live
News

Ddereeva w’omulamuzi eyavaayo nayogera ku musaala omutono gwafuna asindikiddwa e Luzira

May 22, 2023 · Mubiru Ali

Ddereeva w’essiga eddamuzi Stanley Kisambira, eyawulirwa mu katambi ngayogera ku musaala omutono gwafuna avunaaniddwa omusango gwotambuza obubaka obusiga obukyaayi era nasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 2 June.

Kisambira 46, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala  erisooka owa Kkooti ya Buganda Road Fidelis Otwao amusindise ku alimanda.

Omulamuzi ategeezezzanti nga 12-May-2023, Kisambira ngali mu Ggwanga Yuganda yaweereza obubaka obw’eddoboozi ku WhatsApp Group ya Judiciary nga agezaako okusiga obukyaayi eri Abalamuzi ngagamba nti bafuna omusaala omunene ennyo ogusinga ogwaba Ddereeva baabwe ekitali kyabwenkyanya nti era Ddereeva ayinza okusalawo okukola akabenje natta omulamuzi n’abakuumi be.

Kisambira omusango agweggaanyi, era nasindikibwa ku alimanda okutuusa nga 2-June lwanasimbibwa mu maaso g’omulamuzi atandike okuvunaanibwa atabaddeewo leero.