Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

ddereeva w’emotoka eyasse abantu e mbiriizi ali muddwaliro apookya

December 24, 2018 · Mubiru Ali

Ddereeva w’emotoka ekika kya Allex eyatomedde abantu 4 e Mbiriizi nebafiirawo ategeerekese nga ye Otwiine Eddie, 71 nga mutuuze w’e Kyanja mu Kampala nga kati ali mu ddwaliro lya Mbarara Referral Hospital.
Abafudde kuliko;
1. Kawusa Iga ow’emyaka 10 mutabani wa Mr Haruna Matovu ow’e Ndegeya Lwengo district.

2. Biragire Emmanuel 18 mutabani wa Mr. Kankaka Badru ow’e Kabarungi, Lwengo district.

3. Bazeketa Geoffrey ow’emyaka 11 mutabani wa Mr Sekandwa Herman ow’e Ndegeya, Lwengo district.

4. Baguma Eddie 30 omuvuzi wa Boda Boda nga mutuuze w’e Bwami, Lwengo district.