Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 81 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Ddereeva wa Aponye akwatiddwa Poliisi

July 12, 2023 · Mubiru Ali
Moses Buyinza Isabirye, Ddereeva w’omugenzi Apollo Nyegamehe, aka Aponye, akuumirwa mu kaduukulu ka Uganda Police Force e Ntungamo ku bigambibwa nti yali avugisa ekimama.
Nyegamehe, yafiira mu kabenje akaagwa e Itojo ku luguudo lwa Ntungamo-Kabale wiiki ewedde.
Emotoka y’e ekika kya V8 Toyota Land Cruiser nnamba UBF 300Z netomeregana ne Fuso nnamba UAZ 767D. Aponye, mu motoka yalimu ne muganda we, wabula Buyinza eyafuna ebiwundu naddusibwa mu Ddwaliro lya Mbarara Regional Referral Hospital okufuna obujanjabi nti naye olwatereeramu Poliisi nemutwala mu kaduukulu.
Okusinziira ku Samson Kasasira, omwogezi wa Poliisi ow’ettunduttundu ly’e Rwizi, Buyinza yakwatibwa okuyamba kukunoonyereza okuzuula oba nga waliwo obulagajjavu obuyinza okuba nga bwebwaviirako akabenje kano.
Kasasira agamba nti aba Poliisi okuli abasirikale b’ebidduka, abanoonyereza ku buzzi bw’emisango wamu n’aba forensics baddayo mu kifo awagwa akabenje okukuŋŋaanya obujulizi era fayiro bagiweereza dda ewa Resident State Attorney okugitunulamu abawabule ku kirina okuddako.
Kasasira era agamba nti Poliisi ekola kyonna ekisoboka okukwata ddereeva wa Fuso eyali etisse obumonde, nti era basobodde dda okuzuula nannyini Fuso eno nga bamusaba ababuulire Ddereeva abayambeko mu kunoonyereza.
Alipoota ezasooka okuva mu Poliisi zaalaga nti akabenje kano kaava kukuvuga ndiima wamu n’obutabaawo bubonero bulabula.