Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 69 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Ddereeva n’Omukuumi ba bagyenda Basindikiddwa mu kkooti

December 4, 2018 · Mubiru Ali

Eyali omukuumi ne Ddereeva weyali avunaanyizibwa ku kulondoola Bbanka endala mu Bank of Uganda Justine Bagyenda okuli Juliet Adikot Omukuumi ne Job Turyahabwe Ddereeva basuubirwa okulabikako mu kkooti oluvannyuma lw’okuwa obujulizi obutakwatagana mu kakiiko akalondoola ebitongole bya Gavumenti ku bikwatagana ku nsawo esatu ez’ebiwadiiko ebyagibwa mu Bbanka enkulu nga 10-Feb-2018.

Bbo abakuumi abaali ku mulimu gw’okukuuma emiryango gya Bbanka enkulu olunaku olwo okuli Charles Mollo ne Beatrice Kyambadde basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya KCCA ku City Hall ne bavunaanibwa emisango okuli okusulirira emirimu gyabwe okwali obutakebera Bagyenda nga ayingira mu bbanka nga tebamukebedde nga amateeka ga Bbanka enkulu bwegakirambika. Wamu n’obutakola mirimu gyabwe ekyaviirako ebiwandiiko eby’omugaso ebyali bikwata ku kuggala bbanka okuli Tteefe, Global Trust bank ne Cranes Bank.