Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 168 listening Simba FM Live

Ddereeva eyatomera owa Traffic yetutte ku Poliisi

May 27, 2020 · Mubiru Ali

Ddereeva w’emotoka ekika kya RAV 4 nnamba UAS 597U ne munne bwebaali mu motoka nga batomera omusirikale wa Traffic Ayesigye Innocent ku Sunday oluvannyuma eyafiiridde mu Ddwaliro ly’e Nsambya kyaddaaki betutte ku Uganda Police Force e Sseeta.
Bano oluvannyuma lw’okutomera omusirikale tebayimirira, bakuvunaanibwa emisango okuli; okuvugisa ekimama, okuviirako omuntu okufa olw’okuvugisa ekimama wamu n’okulemererwa okutegeeza ku Poliisi nga bakoze akabenje.