Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 293 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Daddy Andre namukyawa lwakugaana kwekebeza – Angella Katatumba

March 29, 2020 · Mubiru Ali

Omuyimbi Angella Katatumba avuddeyo ku bya Daddy Andre,
“Mbulamusizaako mwenna,
Nvuddeyo okwanukula abo ababadde bambuuza ku kiriwo wakati wange ne Andre.
– Ebbanga erisukka mu myezi 3, Andre yampisanga ng’Omumbejja. Yamalirako ensimbi ezisoba mu bukadde 20. Tewali kyenali njagala kyatangulira oba okunzikiriza okubaako kyensasula. Yandagayo mu mikwano gye, ab’oluganda lwe nantwala newaabwe mu kyalo.
– Wabula ebinbtu byatabuka mu January bweyafuna ebizibu ebiwerako omwali eby’ensimbi n’ebirala, neyali PA we nabba ssente ze n’emotoka ye ate nange wenamulekera olw’okuba yali agaanyi okugenda okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya.
Nkimanyi kino tekyali kiseera kyangu, era tekyali kyangu gyendi okusalawo nawulira bubi olw’ebirungi n’okwagala kweyandaga. Wadde nga ebyo byaliwo nalina okusigala ku byenzikiririzaamu era nasalawo tusigale ku ky’okutumbula oluyimba lwaffe olwa ‘Tonerabira.’