Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 399 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Councilor Mubiru James asindikiddwa ku alimanda

March 22, 2021 · Mubiru Ali
JAMES MUBIRU ASINDIKIDDWA KU ALIMANDA:
Kkooti y’amaggye etuula e Makindye olunaku olwaleero esindise Councilor wa Lubaga North era Munnamateeka Hon Mubiru James ku alimanda oluvannyuma lwokusomerwa omusango gwokusangibwa n’ebintu by’amaggye.
Mubiru 30, nga Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP asimbiddwa mu Kkooti olwaleero nga ebadde ekubirizibwa Ssentebe waayo Lt. Gen. Andrew Gutti amusomedde emisango okubadde ogwokwambala enkofiira emyuufu.
Kkooti egamba nti nga 18 – November – 2020 e Nakulabye bamusanga nga nga ayambadde enkofiira emyuufu nga eno yabitongole byabyakwerinda byokka nga kikontana n’akawayiro 164(i) aka UPDF Act 2005.
Mubiru emisango agyegaanye wabula oludda oluwaabi nerutegeeza Kkooti nti bakyakola okunoonyereza. Gen. Gutti asindise Mubiru ku alimanda mu nkambi y’amaggye e Makindye okutuusa nga 23, April – 2021 wabula nga tanamusindikayo Gen. Gutti asoose kwebuuza lwaki omuntu owabulijjo ate asibirwa mu nkambi y’amaggye wabula Capt Ambrose Guma owoludda lw’amaggye nategeeza nti Mubiru Munnamateeka nga okumusindika mu kkomera lya Gavumenti e Kitalya obeera otadde obulamu bwe mu matigga.