Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 340 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Col. Nakalema awaddeyo offiisi mu butongole

February 5, 2022 · Mubiru Ali
Olunaku olwaleero Col. Edith Nakalema abadde akulira akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda awaddeyo offiisi mu butongole eri Brig. Isoke Henry. Brig. Isoke agamba nti mugumu nnyo era azze kulwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi mu Ggwanga nti era busobola okuwangulwa.
Asuubizza okukwakwata buli nsonga n’obuvunaanyizibwa, bwatyo neyebaza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwobuwagizi bwawaddeyo eri okulwanyisa enguzi n’obukenuzi. Ye Col. Nakalema ategeezezza nti tajja kulekerawo kulwanyisa buli bwanguzi yadde awaddeyo offiisi era nasaba Bannayuganda ne Bannamawulire okugenda mu maaso n’okuyambako okulwanyisa enguzi.
Assistance Presidential Advisor Andrew Khaukha ku lwa banne mu Kakiiko yebaazizza nnyo Col. Nakalema olwobumu era nasuubiza Brig. Isoke nti betegefu okukolera awamu naye okulwanyisa enguzi.
Ye Haji Yunus Kakande Secretary President’s office, yabadde omugenyi omukulu atenderezza Col. Nakalema olwobuwanguzi bwatuuseeko mu kaseera akatono. Ono ategeezezza Col. Nakalema nti abeere mugumu, kuba Pulezidenti bwaba anakuwa omulimu omulala asooka kusindika mu kibiina, nti era akakasa nti waliwo ekisingako ekijja.