Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 401 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

CMI ne Poliisi baazizza offiisi ya Tumukunde

March 14, 2020 · Mubiru Ali

Ebitongole by’ebyokwerinda nga bikulembeddwamu Chieftaincy of Military Intelligence (CMI) wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola okunoonyereza byazizza offiisi za Lt. Gen. Henry Tumukunde ezisangibwa e Kololo gyebyazuulidde ebintu by’amaggye eby’enjawulo wamu n’ekibinja kyabadduka mu maggye okusinziira ku bamu ku babadde mu kikwekweto kino.Mu byagiddwa mu Offiisi ya Tumukunde mulimu essimu ez’omungalo, ensawo z’amaggye, tent z’amaggye.Mu kifaananyi be basajja 4 abasangiddwa mu offiisi zino abagambibwa okuba nga badduka mu maggye. Bino byonna byabadde bigenda mu maaso nga Lt. Gen. Henry Tumukunde waali yaleeteddwa okuva ku SIU e Kireka. https://youtu.be/R7OIWwdm0gw