Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 418 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gwababbye gold

October 24, 2023 · Mubiru Ali

Ab’ebyokwerinda okuli aba CMI, ISO ne Flying Squad bali ku muyiggo gw’ababbi ababadde batambulira mu ‘Drone’ abagambibwa okuteega aba kampuni ya Bullion Refinery (U) Ltd esangibwa mu Arua nebabbako zzaabu abalirirwamu obuwumbi bubiri n’ekitundu. Kigambibwa nti ababbi bano basazeeko emmotoka kika kya Wish nnamba UBE 139G omwabadde zzaabu ono mu katawuni ke Nseke, ku kyalo Ngogolo mu Gombolola y Butuntumula mu kiro nebanyaga era Uganda Police Force y’e Luweero olwategezeddwa yakwataganye n’ebitongole ebirala nebatandika omuyiggo gwa bano.