🗳️ Chris Obore ne banne abalala bakiriziddwa okweyimirirwa ku nsimbi ezobuliwo obukadde 30, okuwaayo ekyapa kye ekyamakaage ag’e Kiwanga wamu ne ppaasippooti ye. Mureebe alagiddwa okusasula obukadde 20 ezobuliwo, okuwaayo ekyapa kyamakaage agasangibwa e Goma ne ppaasippooti ye.
Kaaya Rajab naye alagiddwa okusasula obukadde 20 ezobuliwo, certificate of purchase eyamakaage agasangibwa e Kyebando wamu ne ppaasippooti.
Okui Emmanuel naye alagiddwa okusasula obukadde 20 n’ekyapa ky’ettaka erisangibwa e Kyaggwe ne ppaasippooti.
Adilo Daniel alagiddwa okusasula obukadde 35, okuwaayo ekyapa ky’ettaka erisangibwa e Kyaggwe.
Okema Leonard alagiddwa okusasulwa obukadde 35, ekyapa ky’ettaka ly’e okuli amakaage erisangibwa e Katale Bugema mu Kyengera nokuwaayo ppaasippooti ye.
Butebata Vincent alagiddwa okusasula 30, okuwaayo ekyapa kyettaka erisangibwa e Busukuma ne ppaasippooti ye.
Ababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde 300 buli omu ezitali zabuliwo.
Balagiddwa okulabikako ewa Deputy Registrar wa Kkooti buli lwa b

