Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

China etonedde Poliisi ya Uganda Coaster

August 14, 2018 · Mubiru Ali

Ambassador wa China mu Uganda Mw. Zheng Zhuqiang olunaku olwaleero awaddeyo Coaster etwala abantu 22 eri Poliisi ya Uganda ku kitebe kya Interpol n’enkolagana n’ensi endala e Kololo, Mabua Road.

Zheng asiimye nnyo emirimu wamu n’enkolagana wakati wa Poliisi ya Uganda ne China era bwatyo nasaba enkolagana eno yeyongere ne munsuubulagana n’ebintu ebirala.

D/IGP Brig. Sabiiti Muzeyi avuddeyo neyebaza Ekitebe kya China mu Uganda olukuvaayo n’obuyambi obw’enjawulo eri Uganda wamu n’obuyambi eri Poliisi ya Uganda nga emtabula wamu n’okutendeka abasirikale ba Poliice.

Ye akulira ekitongole kya Poliisi ekya INTERPOL and International Relations, Dr Fred Yiga asiimye nnyo China olw’obuyambi kuba buyambye okumalawo obumenyi bw’amateeka ku nsalo.

Kinajjukirwa nti Ekitebe kya China mu Uganda kyatonera INTERPOL generator empya ya KV 110, TV ennene wamu ne Camera saako n’okutendeka abasirikale ba INTERPOL.