Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 130 listening Simba FM Live

CFO w’e Butebe bamugobye emisinde nga agezaako okubulawo

October 30, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda kavuddeyo ku katambi akalaga engeri embi Chief Finance Officer (CFO) wa Disituliki y’e Butebo Kowa Mutekanga Simon gyeyakwatiddwamu ku bigambibwa nti yabulankanya ensimbi ezisoba mu kawumbi akamu.
Akakiiko kategeezezza nti oluvannyuma lwokumukunya nga 28-Oct Kowa yakwatibwa wabula mbu nabuuka ku motoka eyali emutwala nafuumuuka emisinde emizibu ekyawaliriza abakungu okumugoba kiromita essukka mu emu era nebamukwata wabula basanga obuzibu obwamaanyi ngagezaako okubalwanyisa.
Akakiiko kagamba nti kyanaku nnyo nga wadde bagezaako okumuwa ekitiibwa okuba nti yeyisa mu ngeri eryo.
Akakiiko kasuubizza okukola okunoonyereza okuzuula kiki ekyaliwo bwebaali bakola omulimu ogwo.