Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,256 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

CFO wa Disitulikiti y’e Butebe bamuyisizaamu esambaggere nga bamukwata

October 30, 2022 · Mubiru Ali
Wabaddewo katemba atali musasulire abakungu okuva mu Kakiiko okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda bwebabadde bakwata Chief Finance Officer (CFO) wa Disitulikiti y’e Butebo Simon Koowa Mutekanga wamu n’abakozi abalala aba Disitulikiti.
Kigambibwa nti bano batondawo essomero eritaliiyo erya ssekendule nga liyitibwa Kanginima SS nga kigambibwa nti libadde lirina abaana 250 era nga limaze ebbanga lya myaka 3 nga liweebwa obukadde 40 ku buli quarter.
Mutekanga yakunyizibwa abakungu okuva mu Kakiiko akalwanyisa enguzi okumala essaawa eziwera era bwebamutegeeza nti yali mukwate yemulula nadduka abakungu nebamusimbako nebamukwatira mu lusuku olulinaanye ekitebe kya Disitulikiti.
Abakungu abaali bataamye obugo balabibwako nga bamukuba ensambaggere wamu n’emiggo okumutuusa ku motoka ekika kya double cabin nga n’engoye baziyuzizza.
Ttiimu ya State House kwabaddeko; Samuel Arinaitwe, Charles Mugerwa ne Samule Liwa.