BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live
Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttundutundu lya Wamala Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga abasirikale okuva mu Crime Intelligence bwebakutte abantu 2 kubigambibwa nti benyigira mu ttemu ery’emirundi 2 mu Muluka gwe Kasega, mu Gombolola y’e Kapeke mu Disitulikiti y’e Kiboga nga 4-April 2024.
Abakwatiddwa kuliko Sulaiman Ssentongo 32, omutuuze ku Kyalo Kirinda ne Namuleme Maureen 41, omutuuze ku kyalo Kisingiri, Namirembe Bakuli Ward, Rubaga Division, mu Kampala.
Abasirikale balondodde Ssentongo omusawo w’ekinnansi nga bakozesa essimu nebamukwatira e Kireka mu Kampala ekiro nga 5-April wamu ne mu Namuleme Maureen nga kigambibwa nti yeyamuwadde ssente z’entambula asobole okudduka okuva mu kifo webattira abantu bano.
Bano bombi bakuumirwa ku CPS e Kiboga nga kati abakakwatibwa baweze 3. Kigambibwa nti nga 3-April ku ssaawa nnya ez’ekiro baana 2; Nantongo Sylvia, 5 ne Nakasumba Esther, 2 babula, ekyenaku ebiwuduwudu byabwe byasangibwa ku Kyalo Kirinda, Kasega Parish, Kapeke sub-county, era bambega ba Poliisi okunoonyereza kwabwe kwabasuula mu maka ga Sulaiman Ssentongo, omusawo w’ekinnansi.

Omumyuuka w’omukulembeze w’Eggwanga H.E Major (rtd) Jessica Alupo R.E, mutaka mu Kibuga Kigali ekya Rwanda gyagenze okukiikirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo ogw’omulundi ogwa 30 ogwokujjukira ekittabantu ekyaliwo mu 1994. Alupo ayaniriziddwa Hon. Dr. Claudine Uwera, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku butonde bw’Ensi ne H.E (rtd) Maj. Gen. Robert Rusoke, omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya Rwanda.

Sheik Hamidi Tamusuza akulembeddemu okusaala Jumah olwaleero ku Muzigiti e Kibuli akalaatidde Abasiraamu okweyambisa enaku zino 10 ezisembayo mu mwezi Omutukuvu ogwa Ramadhan obulungi nga batuukiriza ebyo Quran byerambika.
Sheik Tamusuza alaze enyiike olwabamu ku basiibi atte abalagajjalira okusiiba kwabwe mu naku zino ezisembayo kyayogedeko nga ekyobulabe ennyo mubusilamu.
Mu kusaala kuno okwetabiddwamu abantu ab’enjawulo nga kwekubadde n’Omubaka Omukyala owa Kampala Hon. Shamim Malende Munnakibiina kya National Unity Platform atonedde Omuzigiti Quran 40 ne Yasarun 40 okwo ssaako kiro z’omuceere 400 neza kawunga 100 zebayambeko mukutegeka okusiibulula Abasiraamu.

Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Joel Ssenyonyi awaddeyo olukalala lw’abantu bawagizi ba National Unity Platform abakwatibwa nga tebavunaanibwa nga wamu n’abo ababuzibwawo olwasabiddwa Minisita Balaam Barugahara. LOP Ssenyonyi ategeezezza nti aleese olukalala luno Gavumenti ereme kuddamu kwekwasa.

Omubaka akiikirira Buyaga West Barnabas Tinkasimire avuddeyo nasaba Sipiika amutangaaza, Minisita omubeezi owa abaana n’abavubuka Balaam Ateenyi Barugahara kweyasinzidde okusaba olukalala lw’abantu abagambibwa okubuzibwawo. Tinkasimire yebuuzizza oba nga Balaam yagisabye kugenda kubasabira kisonyiwo ngayita mu Amnesty Commission.
Ono ategeezezza nti bandiba nga bakubaganya ebirowoozo ku nsonga gyebatalina kwogerako mu kaseera ako. Ayongeddeko nti Uganda erina etteeka lyekisonyiwo, era nemitenderwa egiyitwamu. Ono abuuzizza Palamenti oba nga enkalala zino bwezireetebwa mu Palamenti nga Balaam bweyazisabye nga zigenda kuyisibwa mu mitendera gyokusaba ekisonyiwo. Ono ayongeddeko nti omuntu yenna alowoozebwa okuba nga yazizza omusango atwalibwa mu Kkooti navunaanibwa.

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ababaka Hon. Mathias Mpuuga ne Hon. Hon Medard Sseggona bakiise embuga okugula emijoozi. Bano mbategeezeza nti ebigenda mu maaso mu Ggwanga mbigoberera bulungi era mbiraba.
Mbajjukiza nti mu by’obufuzi mulimu ebisoomooza bingi, kyokka omukulembeze omutuufu y’oyo atuula n’awuliriza era n’ateesa ne banne okugonjoola ebisoomooza, kubanga okuwuliriza ssi kabonero ka bunafu wabula kwerekereza olw’ekiruubirirwa ekinene.”

Andrew M. Mwenda; “Eri mikwano gyaffe mu Mawanga gabeeru: bambi mwesonyiwe ensonga eno. Tubasiima okubeera awamu naffe, naye tetwetaaga buyambi bwammwe ku kino. Okuteeka envumbo ku bantu bano obutagenda mu nsi zammwe kikyuusa buli kimu, nemuba nga abaagala okutukakaatikako obuwangwa bwammwe mu Uganda.” Yabadde ayogerako eri Bannamawulire oluvannyuma l2a Kkooti etaputa Ssemateeka okugoba omusango gwebateekayo ne banne nga bawakanya etteeka ly’ebisiyaga.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) kivuddeyo nekitegeeza Palamenti nga bwekyetaaga obuwumbi obusoba mu 30 okuzimba ettendekero lyebyemisolo (Tax Academy) mwekinasomeseza abakozi baako wamu n’obuwumbi obulala obusoba mu 31 nga zino zakuzimba omukutu gwa ‘oil and gas monitoring system’ ogunakozesebwa okukungaanya omusolo ku mafuta nga Uganda yeteekerateekera okufulumya agaayo mu 2025.

Omulabirizi we Luwero omuggya Wilson Kisekka akyaddeko embuga n’olukiiko lwakulembera nalwo obulabirizi buno Abadde wamu ne Mukyala we, bannaddiini, abakulira amasomero g’Obulabirizi mu Bulemeezi n’abakristo ab’enjawulo. Bwaabdde amwaniriza e Bulange, Katikkiro ayozaayozezza omulabirizi Kisekka olwokulondebwa mu kifo kino era nga obwakabaka bumulinamu essuubi ddene okutambuza emirimu gya Mukama Katonda. Amutegeezezza nti obukulembeze bujjiramu ebisoomooza, naye amusabye ateme empenda okuvvuunuka ebisomoozo naddala ebyo ebiri mu buweereza bwayolekedde wakati mu kuyambagana, n’okuweebwa amagezi. Ku nsonga ya mukenenya, asabye omulabirizi okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya mu Ssaza Bulemeezi kubanga ebibalo biraga nti Bulemeezi lye ssaza omusinga abasajja abakabasanya abaana abawala ate n’okulinnya kw’abantu abakwatibwa akawuka kuli waggulu. Mu bigambo bye, Omulabirizi Wilson Kisekka, asuubizza okutambulira wamu n’Obwakabaka okulaba nga enteekateeka z’Obwakabaka ez’okukulaakulanya abantu, omuli emmwanyi terimba, eby’obulamu, eby’enjigiriza, nokulyowa omwoyo ziyitimuka mu banna Bulemeezi. Obulabirizi buguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 3.