Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 643 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

CAF eragidde ttiimu ya Esperance de Tunis okukomyaawo ekikopo n’emiddaali

June 6, 2019 · Mubiru Ali

#SimbaSportsUpdates;
Ekibiina ekitwala omupiira ku lukalu lwa Afirika ekya Confederation of African Football kiragidde ttiimu ya  Esperance de Tunis okukomyaawo ekikopo n’emiddaali ebya  ttiimu empanguzi eya Africa. Kino okubaawo kyava ku basambi ba ttiimu ya Morocco eya Wydad Casablanca okwekalakaasa nebava ku kisaawe oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo eyekyenkanyi mu ddakiika eya 58 wabula nesazibwamu nga bagamba nti eyagiteeba yali akuumye.
Bwebasaba betegereze vidiyo (VAR) eyali ku kisaawe babategeeza nti yali tekola wadde nga yaliko ku kisaawe.
CAF egamba nti kati ttiimu zombi zitwalibwa okuba nga zaggwa maliri ggoolo 1-1 nga gwakuddibwamu nga ekikopo kya AFCON kimaze kuggwa nga 19 July 2019.