Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 317 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Buweekula awuuma lwa matikkira ga Ssaabasajja Kabaka

July 31, 2017 · Mubiru Ali

Giweze emyaka 24 Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii bukya atuula ku Namulondo ya ba Jajja be okulamula Obuganda .

Mu ssaza ly’ e Buweekula  awaategekeddwa okujaguza leero, Engoma zisuze zikungubijja, emisekera nnyuma nga gisekebbuka ate nga n’enseege ziseegeera. Kati nno nasinsi w’omuntu akedde kwekuluumulula okuva ebule n’ebweya okutuuka ku mbuga y’essaza e Kaweeri awali emikolo emikulu. 

Emyaka 24 wegiweredde nga ebintu bingi ebibaddewo,  Ssaabasajja Kabaka azze akubiriza abavubuka okukola ate n’okuyijya ebbanga lyonna basobole okweyimirizaawo. 

Olunaku luno welutuukidde nga ne Ssaabasajja Kabaka yeekokkola ettemu erisukkiridde  ku bantu mu ggwanga .