BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukomya ebikolwa ebivvoola abakyala – Nnaabagereka

Nnaabagereka wa Buganda Sylvia Naginda akubirizza abakyala mu Bwakabaka bwa Buganda bulijjo okuba n’obuntubulamu nga kino kyakuleetawo enkyukakyuka mu mbeera z’abantu ko n’enkulaakulana.

Nnaabagereka bino abyogedde bw’abade aggulawo Ttabamiruka w’abakyala ba Buganda ng’ono y’akulembeddemu ebikujjuko by’olunaku lw’abakyala mu Buganda olubaawo buli 13 Muzigo.
Maama wa Buganda agamba nti obuntubulamu bwetaagisa mu nsi yonna kuba buleetawo emirembe n’enfuga ennungi nga kino kimalawo n’obutabanguko olwo nno enkulaakulana n’etojjera.

Ttabamiruka ono ayindira ku Hotel Africana mu Kampala nga y’etabiddwamu abakulembeze b’abakyala mu Buganda okuva mu masaza ga Buganda gonna era nga atambulidde ku mulamwa ogugamba nti ” Okussa ekitiibwa mu bakyala gwe musingi gw’enkulaakulana”.  
Ku nsonga eno, Nnaabagereka agamba nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okukomya ebikolwa ebivumaganya ko n’okuvvoola abakyala gamba ng’okubakolako ettemu, okubabonyaabonya ko n’okulwanyisa endwadde eri abakyala.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply