BUUKA ABAFERE BA ABEFUULA BA BBULOOKA B’ENNYUMBA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Mbabazi Annet Ntezi avuddeyo nanyumya emboozi ku befuula ba bbulooka b’amayumba abaali bagezaako okumubba. Agamba nti bano bamubuzaabuza kwebassa n’okumuteeka ku nninga okusasula mu bwangu nga ennyumba tebanagitwala.
Bweyasaba Bbulooka eyali amuweerezza ennyumba mu bifaananyi okumutwala agirabeko bweyamutuukako namutegeeza nga bwebagitutte naye nti alinawo endala eya ssente entonoko wabula nayo waliwo abaali bajagala nga balina okusasula nga tebunaziba nti wabula singa balemererwa yali wakusasula agitwale nti era nnyiniyo musawo mu Ddwaliro e Mulago nga ye Musoga Medi.
Wabula bwebaali bagenda ku nnyumba eyokubiri bbulooka ono yalina omuntu amukubira buli kaseera naye ngamusaba amulindemu kuba yalina gwatwala okulaga ennyumba ekyalowozesa Annet nti yali amutwalira obudde nga ate alina amulinze.
Yamuwa ennamba ya Landi loodi eyamubuuza bbulooka ki agimuwadde wabula yali tanalimubuulira bbulooka nalekaana erinnya lye. Wabula okusobola okukirizisa nnanyini nnyumba atera kubeera Musawo, Munnamateeka, Maneja wa bbanka nemirimu egyamaanyi egikulowozesa nti batuufu.
Balina akakoddyo akokukusaba National ID yo, ebbaluwa ya Ssentebe gyobadde obeera, gyokolera ne business card wamu n’obunene bwa famire. Wano baba bagezaako okumanya woyimiridde mu nsawo. Agamba bamukubira nti oli yali asasudde wabula ngalina famire nnene nabwekityo bamusudde ono asasule bamudize ssente ze kuba ono yali atadde ssente ku akawunti ya landi loodi esasula ebbanja nebazisala nga ayagala ono asasule abaddize.
Landi loodi okumugumya yamuweereza National ID ye wabula bweyebuuza bino byeyazuula ku ID eno; NIN number etandika n’omwaka gwewazaalibwa naye eyona eyazaalibwa mu 1952 eyiye etandika na CM86…… Bwewetegereza akafaananyi ka ppaasipooti akamukubwa yali ayogera, era oli talina kutunula bbali wabula mu kkamera!
Ekifaananyi ekiri ku WhatsApp ya landi loodi kya musajja mukulu ekimala okukirizisa wabula bakozesa kifaananyi kyamukungu omu okuva mu Ggwanga lya Tanzania Godfrey Simbeye nga ono ye Vice President- Africa, Ward Holdings International era Managing Partner Red Advisory Limited. Akutemyako tolinda wambazzi!
Share.

Leave A Reply