Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 129 listening Simba FM Live

Butambala awuuma matikkira ga Kabaka

July 31, 2016 · Mubiru Ali

Ekiri e Butambala kifumba mutuku ku ntikko y’emikolo gy’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ย ag’emyaka 23 ng’atudde ku Namulondo alamula Obuganda.

Emikolo gitojjerera ku Mbuga y’essaza ly’e Butambala e Kabasanda nga ensi n’ensi y’abantu ba Ssaabasajja ekuluumulukuse okuva e Bule ne Bweya okwetaba ku mikolo gino.

Ssaabasajja atuuse ku ssaawa nga 11: 30 ez’enkya era n’akubirwa emizinga gy’engoma abiri mw’esatu oluvannyuma n’akongojjebwa bazzukulu ba Kayira Ab’e Mbogo.