Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 277 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Burora atabukidde abaagala okugulira abaliko ba Ssaabaminisita emotoka ezakawumbi

January 11, 2024 · Mubiru Ali

RCC wa Lubaga Burora Herbert Anderson avuddeyo ku kyokuwa abaaliko abakulembeze emotoka okuli; Ruhankana Rugunda, Amama Mbabazi ne Edward Ssekandi; “Lumu waliwo mukwano gwange eyampola ssente, wenali nina okuzimusasulira nankubira naŋŋamba; ‘Manyi kyoyitamu akaseera kano. Tomenyeka nnyo kutuuka kwekutulako ngalo ngonoonya ssente zange, wonozifunira ngonsasula.’ Nga Bakkaada abato, twakula abakulu abo batusomesa okubeera n’omutima gwe Ggwanga, abaguminkiriza era abalumirirwa ensi yaffe. Kano si kekaseera tusabe abaaliko abakulembeze okulaba nti; 1. Akaseera Uganda keyitamu kati si kalungi. 2. Omwooyo gw’Eggwanga gwebatuyigirizanga si kekaseera nabo bagweyambise balumirirwe Eggwanga. 3. Babeere baguminkiriza okutuusa nga ebyenfuna by’Eggwanga biteredde.”