Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 224 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Bulora byoyogera byongera kunnyonyola kyenagambye – Prof. Spire

September 18, 2023 · Mubiru Ali
Prof. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo nayambalira RCC wa Rubaga Burora Herbert Anderson; “Buli kyowandiika kyongera kwoleka okusaasira kwange (nsaasira obulago wamu n’ebibegaabega byo ebirina omutawaana gwokusitula obuzito bw’omutwe gwo ogutaliimu kantu buli lunaku!) bwekuli okutuufu. Mu kifo ky’okusunguwala, wandibadde omala kwenoonya mu bw’omuntu bwo obw’omuwulenge ozuule engeri gyosobola okweyisaamu ngekuweesa ekitiibwa. Ekyenaku olabika tolina busobozi busookerwako kukimanya nti oli kisekererwa buli kadde.
Twalina omukenkufu Munnakenya owa Philosophy eyatera nga okwanukula nti; ‘Ompadde ssupu w’ebinjaanjalo munngi nnyo omutali yadde ekijanjaalo’ bwewamuwandiikira nga ebintu ebizibu ennyo.”