Breaking
News: Bwoba tewalangirirwa nga muwanguzi kizibu okuwangula omusango. Bannamateeka bali ku mulyo – Baguma News: Eyali akulira ebyokulonda e Mukono Emilly Amongin eyekyuusiza mu kiti nga embazzi bweyasooka kulangilira Jonhson Muyanja Ssenyonga owa National Unity Platform ngomuwanguzi ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti e Mukono ate oluvannyuma nalangilira Francis Lukooya Mukooma owa National Resistance Movement News: Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 219 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Buli omu genda owagira omuntu gwoyagala ku Alien ne Pallaso – Bobi Wine

June 8, 2023 · Mubiru Ali

Pulezidenti wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo ku kivvulu kya Pallaso ne AlienskinUg; “Olunaku lw’enkya nga 9 June, Abayimbi baffe abalungi balina ebivvulu byabwe.
ALIEN SKIN kye kifaananyi ekituufu ekya Ghetto era ekyo ky’ekituufu kyetuli. Atubanja obuwagizi, okumwagala wamu n’okumuluŋŋamya.
Pallaso mukwano ggwange nnyo, era amanja okumwagala. Mu 2018 mu kaseera akazibu ke nalimu nga mpambiddwa, nebantulugunya, yali omu ku bayimbi abatono abavaayo okukozesa ennyimba zaabwe okulaba nti nteebwa. Sisobola kukyerabira. Mwagaliza ekivvulu ekirungi.
Kampala erina abantu bangi abasobola okujjuza ebifo byombi Freedom City ne Cricket Oval Lugogo. Kino kyali kibaddwo. Mikwano gyange muveeyo mugende muwagire buli omu gwawagira. Tosigala waka.”