Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 338 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

BULI MUBAKA WA NUP WAKUWAAYO AKAKADDE 1 ERI EKIBIINA KU SSENTE Z’EMOTOKA

July 23, 2021 · Mubiru Ali
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya Gavumenti ki National Unity Platform (NUP) kivuddyo nekitegeeza nga bwekyakiriziganya n’Ababaka Bannakibiina buli omu okuwaayo akakadde 1 okuva ku nsimbi z’emotoka ezinamuweebwa okuva mu Gavumenti.
Ekibiina kigamba nti ensimbi zino zakuyamba mukutambuza emirimu gy’ekibiina omuli n’okuzimba ekitebe ky’ekibiina.
Nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti era nga kati yakola nga Pulezidenti w’ekibiina Hon. John Baptist Nambeshe, yagambye nti Ababaka Bannakibiina kya NUP bebasalawo mukwagala okuwaayo akakadde 1 eri ekibiina okutambuza emirimu.
Hon. Nambeshe agamba nti kino tekirina wekikwataganira na Pulezidenti wa kibiina kino Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wabula kutambuza mirimu gyakibiina. Hon. Nambeshe ayongeddeko nti ensimbi zino bwanazifuna ayinza n’okuwaayo obukadde 100 olwokwagala kwalina eri NUP.