Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 980 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Buli alina akakwate ku kutta Ekalungar waakukwatibwa – Magye

January 22, 2018 · Mubiru Ali

Ebitongole by'ebyokwerinda bisuubizza okugombamu obwala buli alina akakwate ku kuttibwa kwa Francis Ekalungar  eyali omubazi w'ensimbi owa Case Hospital eyattibwa gyebuvuddeko n'omulambo gwe ne gwokebwa eryo mu bitundu by'e Kajjansi mu Disitulikiti y'e Wakiso. 

Kino kiddiridde abantu 30 okugombebwamu obwala ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde nga n'Omuyima wa Bodaboda 2010 Abdullah Kitatta mw'omutwalidde ku byekuusa ku kutemula Ekalungar wamu n'obuzzi bw'emisango emirala mu Kampala. 

Okusinziira ku mumyuka w'omwogezi wa UPDF, Lt. Col Deo Akiiki, agamba nti ebikwekweto bino begendererwamu kukwata abo abazzi b'emisango oluvannyuma basimbibwe mu kkooti bawerennembe n'emisango era nga okwogera bino asinzidde mu ssengejjero lya mawulire erya Gavumenti  – Uganda Media Center mu Kampala.