Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Buganda ewakanya ennongoosereza mu tteeka ly’ettaka

August 22, 2016 · Mubiru Ali

Obwakabaka bwa Buganda bugamba nti tebuwagira nteekateeka ya Gavumenti ey’okuleeta ennongoosereza mu bbago ly’etteeka ly’ettaka lyebagamba erisobozesa Gavumenti okutwalanga ettaka ly’abantu olwo eryoke eyingire mu nteeseganya ez’okubaliyirira .

Bino byogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayega leero bw’abadde ayogera eri olukiiko lwa Buganda olwa ย 24 olwaggulwawo Ssaabasajja Kabaka ku ntandikwa ya ssabbiiti ewedde .

Mayega agamba nti oba Gavumenti eyagala okuwa ba Musiga nsimbi ettaka, eguleyo ettaka eddene ebawe .

Katikkiro era asabya Gavumenti efube okulaba nga etumbula eby’obulimi abalimi basobole okufunamu .