Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 313 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Buddu esitukidde mu Ngabo

August 20, 2016 · Mubiru Ali

Essaza ly’e Buddu lisitukidde mu Ngabo y’emipiira gy’amasaza ga Buganda  oluvannyuma lw’okuwangula Gomba ku luzannya olw’akamalirizo 

Libadde ssanyu na kucacanca eri Bannabuddu ababadde abalaba omupiira gw’akamalirizo mu kisawe e Namboole akawungeezi ka leero nga Buddu ewangula Gomba .

Omupiira gusoose kulemagana ggoolo emu ku emu mu ddakiika ekyenda olwo neboolekera okusimulagana Penati era zigenze okuggwa nga Buddu ebala mukaaga ate Gomba ttaano (6-5).

Ekyo nekyoreka nti obuwangaazi bw’emmese bugirumisa ku ddiba lya Kkapa kubanga bulijjo Buddu nebadde eviraamu awo nga Namubiru ababula emmamba

Kinajjukirwa nti era omwaka oguwedde Buddu yatuuka ku luzannya olw’amalirizo wabula n’ewuttulwa essaza ly’e Ssingo ggoolo ttaano ku kiiso  ky’engege nga ku luno yeenaazizzaako ekikwa .

Ekyonno kitegeeza nti obuwanguzi Buddu bw’efunye bugiyingizza mu byafaayo by’amasaza agawangudde ku Ngabo eno  era nga ebakwasiddwa Sseggululigamba Mutabani wa Mutesa , Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 akawungeezi aka leero.

Aggundeggundde Maaso Moogi