Bright Stars FC ewandudde Express FC mu kikopo kya Uganda Cup

#SimbaSportsUpdates;
@Bright Stars FC olunaku lw’eggulo yawandudde Express Football Club mu kikopo kya Uganda Cup mu kusimulagana ppenati mu kisaawe e Wankulukuku. Hamza Muwonge eyaliko emunnyeenye ya Uganda Cranes yeyambye Bright Stars okutuuka ku buwanguzi bweyakutte ppeneti 3.
Omutendesi wa Bright Stars Fred Kajoba yagambye nti obuwanguzi bwebatuuseeko gonna maanyi ga Hamza Muwonge nti era bamwenyumirizaamu. Ono yakutte ennyanda ya Michael Birungi naginyugunya ku muti, olwo yo eya Sadik Ssekyembe ne Davis Mayanja nazo tezalutonze.
Ye omutendesi wa Express George Ssimwogerere agamba nti wandiba nga wabaddewo ekkobaane mu basambi okumulemesa kuba bamugambye nga bwebagenda okweronda abagenda okusimula ppeneti wabula kyamubuuseeko nga Tony Odur teyabaddeko.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ebbeeyi y’amasanyalaze erinnye ebitundu 7 ku 100