Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 718 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Brig. Keith Katungi kati yaduumira ekibinja kya UPDF ekiri e Somalia

December 20, 2021 · Mubiru Ali
Brigadier Keith Katungi yakwasiddwa mu butongole offiisi y’omuduumizi w’ekibinja kya Uganda Contingent Commander (CONTICO) mu Somalia wansi wa African Union Mission in Somalia (AMISOM). Ono yazze mu bigere bya Maj Gen Don Nabasa eyakwata offiisi eno mu Nov 2020.
Omukolo gwabadde ku Base Camp Mogadishu era nga gwakulembeddwamu UPDF Deputy Commander Land Forces (D/CLF) Maj Gen Sam Okiding.
D/CLF yasibiridde Brig. Keith entanda nga agisimbuliza mu Bayimbuli mu Kitago ky’Engero 3:6; “Mwatulenga mu makubo go gonna, kale analuŋŋamyanga olugendo lwo” Ono era yamukubirizza okubeera omuvumu naddala mukukola okusalawo ku nsonga ez’amaanyi.
Maj Gen Don Nabasa yebazizza nnyo ttiimu gyabadde akulembera era nategeeza nti obuwanguzi ku Al-Shabab buzze lwakuba babadde bakolera wamu ng’eggye, Bannansi ba Somalia wamu n’amaggye g’ensi endala.
Abalala ababaddewo ye Ugandan Defence Attachment e Somalia Maj Gen Lucky Kidega, D/CONTICO Col David Obeera, Contingent Asset Commanders, Battle Group Commanders, Senior Officers, Junior Officers aba Ugandan Contingent.