Breaking
News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 291 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Bomu esse 1 munaana bataawa.

February 17, 2016 · Mubiru Ali

Bomu ekubye abaana 9 omu n’afiirawo mbulaga omunaana neguddusibwa mu malwaliro omuli Mulago ne Mengo nga embeera mbi ddala .

Akubiddwa Bomu atannategeerekeka mannya ge  ateeberezebwa okuba mu myaka 12  ate abalala bali mu myaka 16, babadde mu kasaawe okuliraana Ring Road kumpi n’o lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka e Mengo . Kiteeberezebwa nti abaaana bano babadde bazannyisa akantu akalinga akuuma nga bakeekasukira ekizuuliddwa oluvannyuma nti ebadde bomu nga yali yeeziika mu ttaka okumala akaseera .

Ayogerera Police mu ggwanga Fred Enaga akakasizza bino era n’agamba nti police esindise abakugu mu bya bomu era n’asaasira ab ‘enganda .