Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 345 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

B’ofiisa ba Police 2 bafiiridde mu bulumbaganyi – Kalerwe

September 17, 2017 · Mubiru Ali

Police ekakasizza obulumbaganyi obwakoleddwa ku bakozi na Kkampuni ekola emigaati eya Denovo erisangibwa ku Kalerwe okuliraana essundiro ly’amafuta erya Total ku luguudo lw’e Gayaza abatamanyangamba mwebasindiridde b’Ofiisa ba Police babiri amasasi agabattiddewo  n’abalala nebagendera ku bisago. 

Ku battiddwa kuliko SPC Moses Karungi ne SPC Mubiru  era nga n’emmunu zaabwe zitwaliddwa,  ate okwo kw’ogatta n’omugoba wa Mmotoka kika kya Noah UAY 993F etambuza abakozi ategeerekeseeko erya Ssengonzi  naye aluguzeemu obulamu.

Omwogezi w’ekitongole kya Police mu Kansala n’emiriraano  Emilian Kayima ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku bulumbaganyi buno obwakoleddwa eggulo ku ssaawa  ssatu ez’ekiro.

Gyo emirambo gy’aboofiisa ba Police gyaggyiddwawo negitwalibwa mu ggwanika e Mulago songa n’abalumiziddwa abawerako baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga bapookya. Kitalo!!