Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 556 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Bobi Wine yegasse ku babaka abazzizzaayo obukadde 29

October 28, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Kyaddondo ey'obuvanjuba , Robert Kyagulanyi Ssentamu alagidde Bank ya Baclays okuzzaayo ssente obukadde 29 eri Palamenti obwasindikiddwa ku akawunta ye ku ky'okwebuuza ku balonzi ku ky'ekkomo ly'emyaka.

Kyagulanyi yeegasse ku bakaba banne abalala abawakanya eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti nga kati abaakazzaayo ssente zino baweze munaana omuli;  Angelline Osegge , Muwanga Kivumbi,  William Nzoghu,  Medard Lubega Seggona,  Moses Kasibante ne  Mathias Mpuuga owa Munisipaali y'e Masaka