Breaking
News: Egimu ku mirimu gyOmubaka wa Palamenti egirambikibwa Ssemateeka kwekuli okukiirira abantu, okuyisa amateeka, okulondoola wamu nokutematema News: Omubiri gweyali omukozi wa Radio Simba Ffemwe Mweffe Alex Edward Ssaava Nsubuga Kigoonya Mukulu amanyiddwa ennyo nga Alex Mukulu aka Kalekyeezi News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 364 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Bobi Wine yagaanye okusisinkana Bannamateeka be – Poliisi

January 19, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo ku ky’okugaana Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okusisinkana abantu; “Olunaku olwaleero ku ssaawanga 4 ezokumakya, twakoze enteekateeka Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert asisinkane Bannamateeka be okuli Katana ne Wameri mu maka ge e Magere. Era twateeseteese asisinkane n’omumyuukawe mu National Unity Platform – NUP owa masekatti ga Yuganda Hon. Mathias Mpuuga.
Wabula ekyewuunyisa Hon. Kyagulanyi yagaanye okubasisinkana nategeeza nti wakubalaba mu maaso ko. Tukikaatiriza nti okusisinkana ne Bannamateeka ddembe lyetusaamu ekitiibwa era lyetujja okukuuma ekiseera kyonna.”