Breaking
News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana News: Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda nga bakulembeddwamu Eggye lya UPDF ssaako ne News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 90 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Bobi Wine tumutambuza bulungi – SSP Emilian Kayima

September 20, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi eveddeyo nekiwandiiko ku ky’Omubaka Kyagulanyi;

Leero olw’okuna nga 20 – Sept – 2018, Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu akomyewo mu ggwanga era nawerekerwa Poliisi mu mirembe okutuuka mu makaage e Magere mu Wakiso. Tumwebaza olw’okukiriza nakulaganira wamu ne Poliisi ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nemuwa obukuumi, entambula wamu n’emotoka emugulidde ekubo okutuuka ewuwe.

Twebaza Bannayuganda abakirizza nebagoberera ebiragiro ebyateekeddwawo olunaku lw’eggulo.

Ekirala, abo abagamba nti waliwo Bannamawulire abakwatiddwa si kituufu. Abamu ku bbo babuuziddwa ku bikwatagana n’ebiragiro ebyateereddwawo era bonna bateereddwa era bakola mirimu gyaabwe mu mateeka.

Tubasaba mwenna musigale nga muli bakkakamu, era netusaba ne Hon. Kyagulanyi okugoberera amateeka ga Uganda wamu n’obukwakulizo obwamuweebwa nga bamuwa bail ya Kkooti.

SSP Emilian Kayima

PRO

Sept. 20th, 2018