Bobi Wine talabiseeko mu Kkooti

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine talabiseeko mu Kkooti ya Buganda Road enkya yaleero gyabadde alina okulabikako ku musango gwa OTT. Munnamateeka we Asuman Basalirwa ategeezezza kkooti y’omulamuzi Esther Nahirya nga omuntu we bwatali mu Ggwanga.
Omuwaabi wa Gavumenti asabye omusango gwongezeddwayo okutuuka nga 8 – June – 2019. Banne bavunaanibwa nabo okuli Eddie Mutwe n’abalala babaddewo.
Omulamuzi omusango agwongezaayo okutuusa nga 10 – July – 2019.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
abasomesa b’e makerere beremye