Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 317 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Bobi Wine ne banno mwali mugezaako okunyiiza Pulezidenti – Resident Senior State Attorney Gulu

July 5, 2019 · Mubiru Ali
Resident Senior State Attorney owa Disitulikiti y’e Gulu Omia Patrick avuddeyo n’emisango emiggya ku Babaka okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, MP Zaake Francis Butebi, Kassiano Ezati Wadri Mike Mabikke, Karuhanga Gerlad, Paul Mwiru wamu n’abantu abavunaanibwa okukuba emotoka y’omukulembeze w’eggwanga ejjinja eryayasa endabirwamu yaayo nga 13 – August – 2018 mu Arua Municipality.
Omuwaabi wa Gavumenti agamba nti bano baali bagenderedde okunyiiza omukulembeze w’eggwanga nga bakakanya ekitiibwa kye ng’Omukulembeze w’eggwanga nga baziba ekubo okulemesa emotoka ze okuyitawo so nga alina eddembe okuweebwa ekubo okuyitawo.