Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 275 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

bobi wine n’abalala 400 basulirira kugobwa ku ttaka

March 20, 2019 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine wamu n’abatuuze abalala 400 abasulirira okusengulwa ku ttaka eriweza yiika 26 e Kamwokya, bagamba nti betegefu okuyita mu nkola ezigoberera amateeka gamba okuteesa ne nnnyini lyo. Wabula bano bagamba nti era bamalirivu okumwenganga singa akozesa enkola endala yonna okugeza nga ekyakolebwa e Lusanja awo nabo tebajja kulonzalonza kwetaasa.
Wiiki ewedde aba M/s Pearl Hope Investments Limited, nga bayita mu Lubega, bategeeza Omubaka Kyagulanyi n’abalala mu bbaluwa nga bwebagenda okusendebwa singa tebatereeza busenze bwabwe. Abatuuze abali mu Mulimira, Kisenyi ne ku luguudo lwa Old Kira Road ku ttaka eriwezaako yiika 26 ku Block 213 Plots 20-78, n’endala plot 1979, 20186, ne 1977.
Wabula ye Moses Kiggundu owa Matovu and Company advocates agamba nti ebbaluwa ezaweereddwa abatuuze sizakubasengula wabula zitegeeza abatuuze okuvaayo amangu bagende bafune ebyapa mu bwangu.
Ono agamba nti bangi kubbo bagamba nti balina ebyappa nga ne Bobi Wine mwomutwalidde balina bijingirire.