Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 468 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Bobi Wine ayagala police emuliyirire obukadde 300 lwa kumulemesa bivvulu

October 19, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Kyaddondo ey'obuvanjuba ayagala Police emuliyirire obukadde bisatu obwa ssente za Yuganda lwa kumulemesa kukola bivvulu bye .

Kino kijjidde mu kiseera ng'aduumira Police mu Kampala n'emiriraano , Frank Mwesigwa yayisizza ekiwandiiko ekiyimiriza ebivvulu bya Bobi Wine ng'agamba nti Bobi Wine ebivvulu bye abiteekamu eby'obufuzi era n'akozesa ebigambo ebikuma omuliro mu bantu. 

Bobi Wine agamba nti abateesiteesi b'ebivvulu baali baatandika dda okumusasulako ate nga bataddemu ne ssente zaabwe okulanga nga batimba ebipande ate abyakuuliddwayo Police ng'eri wamu n'abalwanyisa obumenyi bw'amateeka (Crime Preventers). N'olwekyo Bobi ayagala kkooti eyise ekiragiro ekiyimiriza Ssaabawolereza wa Gavumenti ne Police okugenda mu maaso n'enteekateeka yaabwe.