Bobi Wine awaddeyo okwemulugunya kwe bulungi – SP Patrick Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo ku bibaddewo olunaku olwaleero; “Twagala okutegeeza Bannayuganda nti olunaku olwaleero nga 17.2.2021 Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine awaddeyo okwemulugunya kwe bulungi ku kitebe kya United Nations Human Rights ekisangibwa ku Prince Charles Drive e Kololo mu Kampala. Yabadde asuubirwa okugenda n’abantu abalala 3 olw’ebiragiro by’ekirwadde kya #COVID-19 , wabula yabigaanye nakungaanya abantu okubadde aba booda booda, emotoka n’abawagizi be nga batambulira ne ku bigere.
Wadde nga tussa ekitiibwa mu ddembe lya Bannayuganda eryokukungaana akulaga obutali bumativu bwabwe, wabula ebyobulamu wamu n’obukuumi bwa Bannayuganda, abagenyi wamu n’obukulembeze obwamateeka kikulu nnyo gyetuli.
Tubajjukiza nti enkungaana ezitali mu mateeka wamu n’okutambulira muluseregende tebikirizibwa era ebiragiro biteekebwa mu nkola.
N’olwensonga eyo okukungaana mu bungi ku okuliraana offiisi za UN kitegeeza nti wabaddewo omukisa gw’okunafuya obukuumi bwaazo kwekwongera amaanyi gebyokwerinda okusobola okugumbulula abantu bano.
Ekyomukisa omubi waliwo abantu batono ddala abalumiziddwa omuli ne Bannamawulire. Tuguddewo fayiro ku Poliisi ya Jinja Road okusobola okumanya bazze batya okulumizibwa.
Kino kijja kutuyamba okumanya kyetuzaako.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply