bobi wine amazaalibwa agakuzizza nga addiza abetaavu

Olunaku lw’eggulo Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga akuza okuweza emyaka 37 yakyaddeko mu waadi y’abakyala bannakazadde ku Ddwaliro lya Kasangati Health Center III nanyumyamu kko n’abakyala ab’embuto ne banakawere nabatonera ebintu eby’enjawulo, oluvannyuma ayolekedde amaka g’abakyala abatalina mwasirizi naddala Bannamwandu agakulirwa Harriet Kasozi.
Era atuuseeko mu maka ga Bakateyamba aga Mapeera Bakateyamba e Nalukolongo nalambula ku bakadde naddala abalina obulemu bwatyo nafundikira olunaku nga akyalira amaka g’abaana aga Sanyu Babies Home gyasalidde Kkeeki n’abaana era nabagabula

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Rosemary Namayanja asimattuse akabenje .