Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 213 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Bobi Wine akyuuse mu mpisa ze – tumwine

December 28, 2018 · Mubiru Ali

Minisita w’ebyokwerinda mu Ggwanga Gen. Elly Tumwine avuddeyo nagamba ebivvulu bya Bobi Wine bingi bijja kugenda mu maaso n’okuganiibwa singa anagenda mu maaso n’obutagoberera biragiro bya Poliisi wamu n’ebigambo byayogerera ku bivulu bye.

Okusinziira ku Gen. Tumwine, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine omubaka wa Kyaddondo East abadde tawuliriza Poliisi byemugamba ebikwatagana n’ebifo gy’aba alina okuyimbira, omuwendo gw’abantu basuubira wamu n’ebintu ebirala ebiba byetaagisa.

Tumwine agamba nti Bobi Wine agezaako kukoppa Dr. Kiiza Besigye nga awakanya buli kimu, okubeera defiant wamu n’okulemesa enteekateeka za Gavumenti okugenda mu maaso. Tumwine agamba nti ab’ebyokwerinda babadde balemesa ebivvulu bya Bobi Wine olw’engeri gy’abadde yeyisaamu. Nabwekityo nti nga ye omuntu ayagala okulemesa enkola za Gavumenti n’abo basazeewo bamulemese.

Tumwine agamba nti Bobi Wine kyalina okukola kiri kimu bw’aba ayagala okuyimba nga tewali amukuba ku mukono alina kugoberera ebimugambibwa.

Tumwine agamba nti ayogedde ne Bobi Wine emirundi mingi namuwabula akyuuse mu neeyisaaye era yewale eby’obufuzi nga akyali mu kuyimba kuba tebisobola kukwatagana.