Bobi Wine agenze e Gulu okukubagiza

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Bwenakomyeewo mu Yuganda, nasitukiddemu ku makya okwolekera ekibuga Gulu okutuusa obubaka bwange obukubagiza olwokufa kwa Sipiika Rt. Hon. Jacob Oulanyah kuba saasobodde kubeerawo mu maziika nga nabadde Geneva – Switzeland.
Nayaniriziddwa Prime Minister wa Acholi, the Rt. Hon. Olaa Ambrose e Ker Kwaro Acoli (Acholi Cultural Institution). Oluvannyuma twafunye ekyemisana n’abataka, nga muno mwemwabadde Omulamuzi wa Kkooti Ensukkulumu eyawummula, His Lordship Galdino Okello Moro, Mrs. Mego Rosalba Oywa, Rt. Hon. Francis Mawa, Prime Minister w’ekika kya Puranga (Ekika omugenzi gya Jacob Oulanyah mwava) n’abalala bangi,
Nakyaliddeko ne His Grace Archbishop John-Baptist Odama owa Gulu Archdiocese.
Neebaza Ambassador Dr. Olara Otunu olwokuteekateeka okukyala kuno wamu n’okutukyaza mu maka ge n’amagezi amalungi ennyo geyatuwadde. Nga tukyalina Abakulembeze nga Amb. Olara, abatugatta, ekirooto kya Yuganda emu kijja kutuukirira.
Neebaza Abantu ba Acholi olw’obuntubulamu. Mbeera nga ali awaka buli lwembeera mu Acholi, bano tebampita Kyagulanyi, bampita Ogen.
Omwoyo gwomugenzi Rt. Hon. Oulanyah Omukama aguwe ekiwummulo eky’emirembe.”
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro